Ebyobulamu
Sigala atta obwongo- mu Uganda ebbago lizze
Ebbago ly’etteeka ku kufuweeta sigala kyaddaaki lyanjiddwa mu palamenti omulundi ogw’okubiri.
Ebbago lino liwa aba minisitule y’ebyobulamu obuyinza okussa mu nkola obuwaayiro bwaalyo.
Ng’ayogerako eri palamenti, akulira akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu Medard Bitekyerezo awadde palamenti amagezi okulonda atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu okukulemberamu akakiiko akagenda okwekenneenya ebbago.
Aleese ebbago lino nga ye mubaka omukyala owe Shema Rose Nyakikogoro asabye ababaka okuwagira etteeka lino okusobola okulwanyisa omuze gw’okufuuwa sigala.
Ebbago lino ligendereddwaamu kukuuma bantu nga balamu
Mu ngeri yeemu
Kizuuliddwa ng’okufuuwa sigala bwekuvaako obwongo okwonoonekera ddala.
Abakoze okunonyereza kuno aba King’s College London bagamba nti kino kisinga kukosa bavubuka banywa sigala kubanga obwongo bwaabwe buba bukyakula
Kino bakitadde ku kirungo ekiri mu taaba ekikosa entambula y’obwongo omuntu n’abeera ng’awunze
Abanonyereza bano batunuulidde abantu abafuuwa sigala 14,555 n’abatanywa enkumi bbiri mu lusanvu.