Ebyobulamu

Eddwaliro ku kizinga kizze

Eddwaliro ku kizinga kizze

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

File Photo: Abatuuze ekoome

File Photo: Abatuuze ekoome

Mu kawefube ow’okutumbula ebyobulamu mu bizinga, ab’ekanisa ya Uganda nga bali wamu n’abagabi b’obuyambi baliko eddwaliro lyebazimbye e Myende ku bizinga bye Koome mu disitulikiti  ye Mukono.

Ssabalabirizi Stanely Ntagali ayanjulidde abakulembeze ba disitulikiti ye Mukono eddwaliro lya Myende Community Hospital nabasaba obuwagizi bwonna nobuyambi okuva eri disitulikiti , abantu baganyulwe mu nsonga z’ebyobulamu.

Agambye ebyobulamu ku bizinga byeralikiriza ssonga abantu abawangalirayo baganda baffe era abagwana okulowozebwako ebbanga lyonna.

Alaze okutya olwakawuka ka mukenenya akakyali wagulu mu bitundu ebyetolodde enyanja.

Ssabalabirizi mu ngeri yeemu ategeezezza nti ng’ekanisa ya Uganda, bategeka olusiisira lw’ebyobulamu olunaaba olunene ddala mu bizinga bye Koome gyebujjako, bajanjabe abantu ku bwereere.

Wano asabye disitulikiti ye Mukono n’abatwala ebyobulamu okukwataganira awamu n’abaddukanya eddwaliro eppya erya Myende Community Hospital mu kutegeka olusisira luno.