Ebyobulamu

Abetta basobola okubudabudibwa

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Suicide

Abakugu mu nsonga z’emitwe bagamba nti waliwo ekiyinza okukolebwa okukendeeza omuwendo gw’abantu abejja mu bulamu bw’ensi eno.

Abantu bano beetaga okufibwaako ennyo era ng’omuntu okutegeera nti ayinza okutta abasawo bagamba nti kyangu okutegeera omuntu agenda okwetta.

Ekisooka abasawo bagamba nti abantu b’ekkika kino batera okweyawula ku banaabwe era ng’omuntu ssinga alaba ng’omulala amweyawuddeko alina okuwoyawooya okutuusa lw’amubuulira ekimuluma olwo omutima negutewulukula

Kyokka era abasawo bagamba nti abantu abamu betta olw’obutaba na Muntu gwebesiga kubuulira bizbu byaabwe nga kyandibadde kirungi ssinga omuntua sirika n’oyita ate asusingako gw’ayinz aokweyabiza

Kyokka abakugu bano bagamba nti ssinga byonna bireme, kyandibadde kirungi n’otemyaako bantu ababudabuda abalala nga bbo tebayinz akulemererwa

Kino kizze ng’abantua betta mu Uganda buli lukya beyongera olw’ensonag ezitali zimu naye ng’abasinga betta lw’abantu bebesinga okwagala okubayiwa