Ebyobulamu
Endwadde ezitasigiibwa zeyongedde
Minisitule y’ebyobulamu eraze obwenyamivu olw’endwadde ezitasiigibwa ezeeyongera buli lukya
Atwala ekiwayi ekirwanyisa endwadde z’ekika kino mu minisitule y’ebyobulamu Gerald Mutungi agambye nti mu kunonyereza kwebaakoze baakizudde omuntu omu ku bana abakulu omu abeera ne puleesa kyokka nga kubuli bantu abakuliridde kkumi basatu babeera ne sukaali.
Dr. Mutungi agambye nti abantu abasinga bagenda okutuuka mu malwaliro ng’obudde buyise tewakyaali kitaasibwa.
Bino abyogeredde mu lukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo by’okukendeeza endwadde zino okutegekeddwa aba Acord