Ebyobulamu
Kaawa amalako ebirowoozo
Obadde okimanyi nti okunywa ku kakaawa kiyamba okukendeeza obulabe bw’omuntu okwetta.
Abanonyereza okuva mu ssomero lya Havard okuzuula bino bagezesezza ku bantu emitwalo mwenda.
Ku bano emitwaalo ena babadde bakyala
Abantu bano babadde banywa kakaawa okumala emyaka ena,.
Kaawa ono babadde bamunyweera mu chai, mu chocolate n’eby’okunywa ebilala
Kyazuuliddwa nti bano era kaawa babadde basing kumuggya mu chai.
Abakugu bakizudde nti omuntu bw’anywa ku kaawa akkakkana ebirowoozo ekikendeeza emikisa gy’okwetta
Ku bantu bano bonna abekebejjeddwa abawerera ddala ebitwaalo 9, abantu 200 bokka bebesse
Wabula abasawo bagamba nti ebizuuliddwa tebisaanye kukozesebwa bantu kwekatankira kaawa kubanga mu bantu abamu akubisa omutima