Ebyobulamu
Obutimba bw’ensiri ku bwereere
Ministry y‘ebyobulamu etandise okugaba obutimba bwensiri eri abakyala abali embuto.
Mu kadde kano bali mu buvanjuba nga bali Budiope mu district ye Kamuli
Omubaka omukyala owa district eno, Veronica Babirye Kadogo agambye nti abakyala bonna abali embuto bakufuna ku butimba buno okulaba nti tebafuna musujja gwa nsiri.
Ono nno era akunze abakyala okwewala okukozesa obuti,ba buno obubi kubanga bugenda kuyamba mu kukendeeza abakyala b’embuto abafa olw’omusujja gw’ensiri
Wansi w’enkola y’okulwanyisa omusujja gw’ensiri, gavumenti yakugaba obutimba obuwerera ddala obukadde 17 okwetoloola eggwanga lyonna