Ebyobulamu
Mwongeze abazaalisa omusaala
Ab’ebibiina by’obwa nnakyeewa bibaze ku mulimu gw’okuwanika amaloboozi mu nsimbi ezissibwa mu by’obulamu bw’abakyala
Wansi w’omukago ogwa civil society organisations on maternal health and new borns, ebibiina bino bigenda kwogeraganyaamu n’abakulu okulaba engeri ensimbi gyezongerwa mu byobulamu.
Batunuulidde nnyo emisaala gy’abasawo abazaalisa ne ba naasi beebagamba nti embeera gyebalimu ebaviirako okukola kanagweeramu eyo gyebigweere ng’abakyala beebakoseddwa
Omukungu okuva mu kibiina kya white ribbon Alliance, David Sebugwaawo agamba nti bagaala abasawo bongerwe ku nsimbi, oluvanyuma lw’okwongeza ba Doctor beebakola nabo.
Abakyala 16 beebafa buli lunaku nga bazaala lw’ensonga ennafue nnyo eziyinza okukolebwaako