Amawulire
Atemyetemye nyina
Poliisi e Kanungu ekutte omuvubuka wa myaka 20 lwakutta nyina
Ono ekimuggye mu mbeera ttaka
Omuvubuka ono ategerekese nga Tito Safari, nga mutuuze we Kyandago mu district ye Kanugu nyina omutemyetemye okutuusa lw’amusse.
Omuvubuka ono kitaawe yafa era nga buli lukya abadde apeeka nyina amuweeko ettaka erilye.
Nyina okumutta amusanze mu nnimiro ng’alima.