Amawulire

Asse omwana

Ali Mivule

February 14th, 2013

No comments

Abatuuze b’omu kabuga k’e Kamuli n’abayizi mu ssomero lya St. Theresa baabunye entiisa mmotoka bwe yatomedde omuyizi n’afiirawo.

Akabenje kaagudde ku Baligeya Road mmotoka bwe yatomedde omuyizi Jackie Khauda abadde asoma mu kibiina eky’okutaano, eyabadde agenda awaka ng’ava ku ssomero .

Abayizi abalala abassomera mu Kamuli College mu siniya ey’okusatu okuli Racheal Namulondo ne Olivia Nakibirango abaabadde bavuga eggaali basimatuse n’ebisago oluvanyuma lwokutomerwa mmotoka ekika kya Toyota namba UAR 227Z.

Kigambibwa nti emotoka omuyizzi ono ebadde avugibwa omukyaala abadde eyigirizibbwa okuvuga omwoozi wemotoka.

Akulira okunoonyereza mu kitundu kino  Pamela Ajilong aweze okugwa mu buufu abavuga nga tebalina bisayizo/.