Amawulire

Namukadde akutte omwana

Ali Mivule

February 14th, 2013

No comments

Omusajja ow’emyaka 85 kata agajambulwe abantu ababadde bataamye obugo lwakukwata bbujje.

Namukadde Eliphaz Kigozi omwana gw’akutte wa kibiina kya kubiri.

Ono nno ebbujje alilimbye ne shs kikumi z’amuwadde okumugulira sigala kyokka ng’asigadde amugoberera.

Omwana ono bw’atuuse mu nsiko n’amugwiira era bwatyo n’amusobyaako.

Omusajja ono abantu mu bukambwe obwekitalo bamugwiridde era okukkakkana nga bamuleseeko kikuba mukono