Ebyobulamu
Kokoolo w’emimiro alina akakwate ku kusenya
Wazze wabaawo okukubagana empawa ku ngeri kokoolo akwata kokoolo wa Nabaana ate gy’akwatamu abasajja
Kino kyatandika oluvanyuma lw’omuzannyi wa filimu Michael Douglas okufuna kokoolo we mimiro nga tamuggye mu kunywa sigala oba mwenge wabula ku mukyala we
Omusajja ono yategeeza nga bweyali yenywegeera ne mukyala we nga kiteberezebwa nti gweyaggyako obulwadde buno.
Bangi okuva olwo bakiwakanya ate abamu bakikkiriza naye nga kati ate abasawo bazudde nti kokoolo owe mimiro alina akakwate ku kawuka akasiiga kokoolo wa nabaana
Abasawo bagamba nti omuntu bw’aba tasenya bulungi kyongera okussa obulamu bwe mu bulabe bw’okufuna kokoolo we mimiro ono
Abanonyereza okuva mu university ye Texas bekeneenyezza abantu abasoba mu 3000 abali wakati w’emyaka 30 ne 69
Abantu bano bababuuzizza bibuuzo byekuusa ku ngeri gyebasenyaamu n’emirundi gyebakikola