Ebyobulamu
OKukogga kisoboka
Abantu bano baggwaamu amaanyi nga bagejjulukuse.
Naye obadde okimanyi nti buli Muntu asobola okukogga okutuuka ku size gy’ayagala.
Obujulizi buva eri omusajja amanyiddwa nga Tim Mc Carty eyali aweza kilo ezikukukkiriza mu 200.
Omusajja ono yali afuukidde ab’omu maka ge ettalo era batandika okumwesamba omuli n’abaana be
Kino kyamuyisa bubi kyokka kyamuwa amaanyi okutandika okusala amasavu
Yasalawo okutandika okutambula nga buli ku makya ng’agenda ku mulimi n’akawungeezi ng’anyuka nga kw’otadde n’okukola exercise endala
Teyakoma awo n’akendeeza ne ku mmere era ono omwaka gugenze oguggwaako ng’asaze kilo 125
Omusajja ono agamba nti bangi bamuwa amagezi okwekozza ng’anywa eddagala kyokka n’akinagaana era n’akuutira abantu okwewala okwekozza nga banywa byebatamanyi wbaula banyiikire okukola exercise n’okulyankuza