Ebyobulamu

Okunywa sooda kulalula abaana

Ali Mivule

August 26th, 2013

No comments

soda dangerous

Abazadde abawa abaana soda muwulire bino

Ng’gyeeko eky’okulwaaza abaana bano, abasawo b’abaana bagamba nti abaana abanywa ennyo soda balwaana nnyo era nga kino bakitandika bakyaali ba myaka 5

Abaana n’abazadde mu ggwnaga lya America beebakoleddwako okunonyereza kuno..

Abaana bano yadde batandika okuagoberera nga bakazaalwa, eby’okunywa soda babitandika bawezezza emyaka 5

Kyazuuliddwa nti abaana abanywa soda emirundi ena olunaku babadde bayiikiriza banaabwe, okwonoona ennyo ebitali byaabwe, okulwana n’okuvuma ennyo

Abaana bano era babadde n’buzibu mu kutegeera ebyabagambibwa okwawukanako nebanaabwe ababadde batanywa soda.

Abasawo bazuula dda nti okunyw asoda kuvaako endwadde nga sukaali n’omugejjo ebitawaanya abaana nebatuuka n’okufa.