Amawulire
Salam Musumba ebyavudde mu kolonda abiwakanyizza
Munna NRM Rehema Watongola N’abawagizi be bakyagyaganya oluvanyuma lw’okuddamu okuwangula akalulu ka municipaali ye Kamuli nebamegga munna FDC Salaamu Musumba eyamuwawabira nebamugoba mu palamenti nti teyasoma.
Watongola yakukumbye obululu 8,726 olwo Musumba nafunayo 5,778 mu kalulu akaabaddeko n’obugombe.
Wabula neera Musumba agamba okulonda kuno tekwabadde kwamazima nga mwabaddemu okugulirira abalonzi, okukuba abalonzi be n’okubakwata.
Musumba agamba wakusalawo ekyokuzzaako oluvanyuma lw’egandaalo lya Easter.
Wabula ye ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama agamba talabanga kulonda kwamazina nga okwabadde e Kamuli.