Amawulire
Kadaga yekubye endobo
Spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga yekubye endobo ku bya palamenti okukoma okunonyereza ku mivuyo mu ofiisi ya ssabaminista
Kadaga mu bbaluwa gy’awandikidde ab’akakiiko akanonyereza aka PAC, Kadaga agambye nti yye yayimiriza bantu babiri okulabikako mu kakiiko sso ssi kunonyereza kwonna
Akulira akakiiko kassiano Wadri agamba nti kati agenda kutandikirawo weyakoma era ng’abantu abeetagibwa bakuyita mu bwangu.
Abalina okulabikako mu kakiiko kwekuli, Ssabaminista Amama Mbabazi ne muko omukulembeze w’eggwanga Janat Museveni.
Mbabazi avunaanibwa kwejalabiza mu nsimbi za bali mu bukiikakkono bw’eggwanga ate nga yye Janat bamulanga kukozesa nsimbi zino kugenda mu ggwnaga lya Isreali emirundi mwenda.