Ebyemizannyo

Cranes eraze eryanyi

Ali Mivule

May 29th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes yayongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo bwebaakubye ttiimu ya Kitara 3-1.

Omupiira guno gwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Buhinga wali mu tawuni ya  Fortportal.

Emmanuel Okwio yateebye ggoolo 2 olwo Nelson Senkatuka n’ateeba eyokusatu nga era gwagenze okuwummula nga cranes ebala 3-0.

Beckam Musoki yeyateebedde aba Kitara oluvanyuma lw’okuyingizibwamu mu kitundu ky’omuzanyo ekyokubiri nga era yateebye penati.