Ebyemizannyo
Kawempe Muslim ne UCU bali ku fayinolo ya liigi
Bya Ali Mivule
Ttiimu ya Kawempe Muslim SS yesozze fayinolo zempaka za liigi y’eggwanga ezokusatu ezomuddiringanwa.
Kawempe yetakuluzzako aba Olila High Scool 2-0 .
Akulembeddemu abateebi Hasfa Nassuna yateebye goolo 2 okuwa Kawempe obuwanguzi .
Kati Kawempe yakuzanya aba UCU lady cardinals abaakubye Uganda Martyrs Lubaga 2-1 mu semi fayinolo endala.