Ebyemizannyo
Kawempe Muslim S.S bebakyampiyoni
Bya Ali Mivule
Aba Kawempe Muslim SS beddiza ekikopo kya liigi y’abakyala omulundi ogwokusatu ogwomudiringanwa oluvanyuma lw’okukuba aba UCU Lady Cardinals 4-0 ku kisaawe kye Wankulukuku.
Juliet Nalukenge y’ateebye goolo 2 olwo Sharon Naddunga ne Favour Nambatya nebateeba endala.
Aba Uganda Martyrs’ High School Lubaga beebakutte ekyokusatu oluvanyuma lw’okukuba Olila High School 3-2 mu penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri 1-1.
Hasifa Nassuna owa Kawempe Muslim yeyasinze banne okuteeba goolo enyingi nga zaabadde 26.