Ebyobulamu
Obutimba bw’ensiri
Minisitule ekola ku by’obulamu olwaleero etandise okugaba obutimba bw’ensiri mu Buvanjuba bw’eggwanga.
Ono yoomu ku kawefube wa ministry eno okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga.
Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti disitulikiti 16 zeezigenda okusooka okukolebwaako ng’abe Bukedea ne Bukwo beebagenda okusooka okubwebakamu.
Nakamatte asabye abafuna obutimba buno okubukozesa obulungi