Ebyobulamu
Abakadde tebafiibwaako
Kikakasiddwa nti eggwanga lya Sweden lyelisinga okuwembejja abakadde.
Afghanistan ate yeeyasinga okubakijjanya ku luuyi luli
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte beebatuuse ku bino mu kunonyereza kwebakoze mu mawanaga 91 era ng’okunonyereza kuno kukwatagana n’olunaku lw’abakadde olukwatiddwa mu nsi yonna olwaleero.
Ab’ekibiina kino bagamba nti amawanga mangi tegalina nteekateeka nnambulukufu eyamba bakadde olwo nebafuuka abasabirizi ate nga baba tebakyasobola kukola
Ab’ekibiina kino basabye amawanga agatali gamu okussa mu nkola enteekateeka z’okuyamba abakadde nga balagudde nti omwaka 2050 wegunaatukira ng’abakadde basingako abaana obungi