Ebyobulamu

Mukole dduyiro

Ali Mivule

October 2nd, 2013

No comments

Exercise

Obadde okimanyi nti okukola dduyiro abangi zemumanyi nga exercise kyongera okunyweeza omubiri gwo obutalwaalalwaala.

Dr.Phenecance Bwambale okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti okukoladuyiro  kuba nga kuyonja mubiri era nga buli Muntu nga bwakeera n’alongoosa enyumba bw’alina okulongoosa omubiri

BWambale agama nti omubiri buli lw’okukozesa dduyiro gunaaza ebikyaafu byonna nebifuluma olwo omuntu n’asigala nga muyonjo.