Ebyobulamu
Abavubuka baakutendekebwa ku nkola ey’ekizaala gumba.
Bya Ritah Kemigisa.
EKitongole ky’obwanakyeewa ekikola kunkola ey’ekizaala gumba ekya Reproductive health Uganda kitegeezeza nga bwekitandise okuyita mu bavubuka okusomesa banabwe enkola ey’ekizaala gumba.
Twogedeko n’akulira ekitongole kino Jackson Chekwek n’agamba nti kino baakikoze okusobozesa abaana ab’obuwala okutandika okwemanyiiza enkola eyekizaala gumba, nga amawulire gano bagagira dala kubanaabwe.
Ono agamba nti batendese abavubuka abasoba mu 800,000 nga bano beebagenda okutabaala egwanga lyonna nga batendeka , ko n’okusomesa banaabwe ku songa zino.