Ebyobulamu
Abaana bakugemwa ekirwadde ky’embiro.
Bya Ndaye Moses.
Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwerina entekateeka ez’okutegeka okugema okwekikungo eri abaana bonna abatanaweza myaka etaano okusobola okubatangira ekirwadde eky’embiro.
Bano bagenda kuweebwa eddagala okusobola okubataasa obuwuka obuleeta obulwadde buno naddala mu baana abato.
Twogedeko n’akulira ebyokutekateeka mu kitongole ekya a UNEPI ekikola ku byokugema abaana nga ono ye Dr. Bernard Opar n’agamba nti ekirwadde ky’embiro kitta abaana abasoba mu 10,000 buli mwaka
Ono agamba nti edagala lino limazze okutuuka mu gwanga era akadde konna okugema kwakutandika mu banga tono obutasukka mwezi gwamukaaga.