Ebyobulamu
Kizuuse nga abantu abafa omuka omukyamu gwebasika beeyongedde.
Ssebuliba samuel
Waliwo okunonyereza okukoleddwa ekitongole ekikola ku by’obulamu munsi yonna nekizuuka nga kubuli bantu 10 mu nsi yonna, abantu 9 basika ebikaka ebikyamu ebiyinza n’okukosa obulamu bwabwe.
Alipoota eno ekizudde nga abantu obukadde musanvu bebafa buli mwaka okwetoloola ensi yonna nga bino biva ku mukka guno.
Dr Tedros Adhanom nga ono y’akulira ekibiina kino ekya world health organization agamba nti abantu obukadde busatu bebafa omukka guno naddala oguva mu stove, amasigiri nebirara, songa abalala obukadde 4.2 bafa lwamukka oguva mu makolero, emotoka nebirara.
Wabula kino kizuuse nga ku bantu abakosebwa omukka guno, ebitundu 90% bali musemazinga ezikyakula gamba nga Asia ne Africa