Ebyobulamu
Abasawo baanukudde omukulembeze we gwanga.
Bya Ben Jumbe.
Ekibiina ekitaba abasawo ekya Uganda Medical Association kyanukudde omukulembeze we gwanga ku by’okwekakalaasa, nga ono yavudeyo olunaku olw’egulo nabalengezza olw’okwekalakaasa kw’ebaalimu gy’ebuvudeko.
Bweyabadde ayogerera ku lunaku lw’abakozi olw’abadde e sembabule, President yagambye nti abasawo bano baali basazeewo okuteeka government ku bunkenke okusobola okugijjamu kyebaagala, kale nga y’ensonga lwaki yali ayagala kuleeta abasawo okuva mu cuba bakole ku bannayuganda
President yagaseeko nti bano bakola mu ngeri yakwefaako bokka, kale nga omusawo yenna eyekalakaasa agwana akimanye nti mulabe wa gwanga.
Kyoka bwetwogedeko ne Dr Ekwaro Obuku akulira ekibiina ekigatta abasawo agambye nti president kati kyakola bakuyita kutisatiisa, kubanga abasawo balina edembe lyabwe ely’okulaga obutali bumativu, kale nga government tegwana kubatisatiisa.