Ebyobusuubuzi

Abakola ku mobilo mane bakusisinkana sipiika.

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Abakola omulimo ogwa mobile money wano mu Kampala abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Kampala mobile money dealers association,  bategeezeza nga bwebagenda okwewerekera batuukeko ewa sipiika wa palamenti  abategeeze lwaki basazeewo okubalemesa akalimo kano kwebajja ensimbi, nga babasaako omusolo ogwamaanyi bwegutyo.

Bino bigidde mukadde nga buli muntu akaaba olwa shillings 1% egibwa ku nsimbi za mobile money.

Twogedeko ne ssentebe waabano Lukyamuzi Mathius  nagamba nti  bamaze okufuna olukusa, era nga bagenda kutambuza bigere nga nga  5th okutuuka wano ku palamenti.

Oono agamba nti okuva nga 1st July, ba- customer tebakyayagala kukozesa mobile money olw’emisolo egisusse.