Ebyobulamu
Katikiro wa Buganda alambudde abalimi mu singo.
Bya shamim Nateebwa.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yalambudde abalimi b’emmwanyi mu gombolola ye Ssekanyonyi mu Ssaza lye Ssingo ng’omu ku kaweefube w’okunnyikiza enkola ya Emmwanyi Terimba egendereddwamu okujja abantu mu bwavu.
Mu bubakabwe, Katikkiro yategezeza nti ekimutambuza mu byalo, kwekukubiriza abantu bakole basobole okulwanyisa obwavu.
Mungeri yeemu Katikiro Charles Peter Mayiga akubiriza abavubuka okukola enyo okusinga okwesigama ku byobufuzi nga basuubira ensimbi.
Katikiro Mayiga agamba nti mukiseera kino ekya jubireewo ,nga tujaguza emyaka 25 Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda mutebi gyamaze kunamulondo tulina okusaawo ebijukizo bya jubireewo wa Sabasajja nga ebivaamu sente mukawafube wokwejja mubwavu.