Ebyobulamu

Obujanjabi bukyetagisa

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Gavumenti esabidwa okwongera amaanyi mu kutuusa obujjanjabi eri abantu, abaina endwadde ezolukonvuba.

Okusaba kuno wekujjidde nga Banna Uganda bangi abeetaga obujjanjabi naye nebatasobola kubufuna nga bali 11%.

Rose Kiwanuka, Ssenkulu w’ekitongole kya Palliative care Association of Uganda ababudabuda abalwadde  agamba nti ensimbi eziteekebwa mu bujjanjabi bwa Palliative Care zikyali ntono ng’ebiwandiiko biraga nti ebitundu 4.8% byokka byebiwebwayo ku bujjanjabi buno.

Ono agamba nti okubudabubuda abalwadde mu nkola eya palliative care kwamugaso nnyo.

Ono wabula musanyufu nti gavumenti okuyita mu ministry y’eby’obulamu nebyenjigiriza obujjanjabi buno babukiririzaamu ng’a bantu bangi batendekeddwa mu kubugaba n’abakugu bangi bawereddwa enkola ez’okubuwa abalwadde.