Ebyobulamu

Abakulembeze e Masaka baboggodde ku sikaani

Ali Mivule

October 23rd, 2013

No comments

masaka hospital

Ab’obuyinza mu district ye Masaka basabye gavumenti okusitukiramu okubafunira ekyuuma ekikola sikaani ekiggya.

Kino kiddiridde ekyuuma ekibaddewo okufa nga kati abalwadde balina okunoonya gyebakolera sikaani nga tebannajjanjabibwa

Omubaka w’ekibuga kye Masaka Mathius Mpuuga agamba nti ekyuuma kino kyafa dda ensonga nebazituusa ne mu palamenti naye nga tewali kikolebwa

Olunaku lwajjo abakulira eddwaliro lino bategeezezza nga ekyuuma kino bwekyaafa nebategeeza ne gavumenti naye nga tewali kikolebwa