Amawulire
Abayizi bagenze mu kkooti
Abayizi mu ttendekero e makerere olutalo lwa fiizi balututte mu kooti.
Kiddiridde abakulira ettendekero okwogera lunye nga bwebatagenda kukyuusa mu nkola eragir abuli muyizi okusasula fiizi ebitundu nkaaga ku kikumi mu saabiiti omukaaga omukaaga ezisooka.
omwogezi w’abayizi, Moses Kyeyune agamba nti kikyaamu ab’ettendekero okuyisa ebikwata ku fiizi nga tebabeebuzizzaako.
Kyeyune kyokka agamba nti okwekalakaasa kwakugenda mu maaso okutuusa ng’ensonga yaabwe ewuliddwa.
Bbyo eby’okwerinda bikyaali binyweevu naddala ku kuslo kya balenzi ekya Lumumba n;ekizimbe ekikulu okuli ofiisi.
Abayizi 11 abakwatiddwa nabo bakyaali mu mikono gya poliisi kyokka nga poliisi egamba nti bagenda kuggulwaako misango gya kukuma mu balala muliro n’obubbi.