Ebyobulamu
Abasawo b’amagumba tewali
Uganda erina abasawo 26 bokka abayunga ga bano beebakola ku bukadde bw’abantu 33.
Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti kino kirese abantu abawera abamenyese nga tebaliiko ayamba era gyebigweera nga bagenze ku basawo b’ekinnansi
Rugunda agamba nti mu malwaliro agamu okwetoloola eggwanga teriiyo musawo yadde n’omu kyokka nga abamenya beebangi
Ono agamba nti mu kadde kano okuweweraako, eggwanga lyeetaga abasawo abayunzi 100.
Mu ngeri yeemu, bbo abantu abaleetebwa nga bagudde ku bubenje basusse mu ddwaliro e Mulago
Ab’eddwaliro lino bagamba nti buli lunaku bafuna abalwadde abakunukkiriza mu 200 ate nga bonna beetaga kulongoosa naye nga tebasobola kubakolako.