Ebyobulamu
Ministry ebya Ebola e Rukungiri
Bya Ritah Kemigisa
Ministry yeby’obulamu ekakasizza nti teri kirwadde kya Ebola mu district ye Rukungiri ne Uganda awamu, nga bwekibadde kiteberzebwa.
Kino kidiridde abantu 2 abafudde e Rukungiri nga bavaamu omusaayi mu nyindo, mu matu nokussema nebiralala byebatereza okubeera obubonero bwa Ebola.
Bano kwabaddeko Wallen Tumuhereze owemyaka 23 ne Steven Babukika owemyaka 56.
Omwogezi wa ministry yebyobulamu Emmanuel Ainebyona atubuliidde nti bwebekebejjeza sampo ezajiddwako ku Uganda virus research institute tebabazuddemu kirwadde kya Ebola.
Uganda ekyali ku bunkenke okuva Ebola lweyabalukawo ku muliraano mu DRC.