Amawulire
Omusawo owe mukono agobwe
Ensonga z’omusawo eyalagajjalira omukyala w’olubuto n’afa zikutte wansi ne waggulu
Ekimu ku kibina ky’obwanakyewa ekya Center for Health, Human Rights and Development kyakukwanga akakiiko akakola ku nsonga z’abasawo ekiwandiiko ekiragira omusawo eyaavako omukyala ono okufa agobwe n’ebbaluwa zze zisazibweemu n’ensonga endala.
Akulira ekibiina kino Moses Mulumba agamba omusawo ono yeeyisa mu ngeri etali yakikugu era yetaaga okunonyerezebwako akangavvulwe afuuke eky’okulabirako eri abasawo abalala obutalagajalira balwadde.
Florence Nakamya yafa ku lw’omukaaga lwa wiiki ewedde oluvanyuma lw’okufuna obuzibu mu lubuto wabula nga talina nsimbi zakumulongosa olwo natwalibwa mu kalwaliro k’obwananyini aka Doctor Christopher Bingi gyeyafira.
Okuva olwo ono yaggulwako gwakutta Muntu mu butanwa era ali ku alimanda ku meere e Luzira nga okunonyereza bwekukyagenda maaso.