Ebyobulamu

Obwakabaka bwa Buganda buzeemu okugema Hepatitis B

Obwakabaka bwa Buganda buzeemu okugema Hepatitis B

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abantu ba Beene nate bakomyeewo okwekebeza nókwegemesa ekirwadde kekibumba ekya Hepatitis B, wali mu bimuli bya Bulange.

Okugema kuno kuwomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation, nga Allan Edigar Kalyowa omukwanaganya wémirimu mu kitongole kino agambye nti batuukiriza obweyamo bwebakola eri Ssabasajja okulongoosa ebyobulamu mu bantu .

Abamu ku bazze okugemwa bagambye nti balina okutya ku kirwadde kino, kaalenga betaag okumanya webayimiridde.