Ebyobulamu
Ababaka ba palamenti baakulwanyisa mukenenya.
Bya Samuel Ssebuliba.
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga za mukenenya kaliko akatabo kekawandiise nga kano mwemuli obubaka obulongoseemu ababaka ba parliament bwebalina okukozesa nga banyonyola abantu ku bikwatagana ne mukenenya.
Ssentebe w’akakiiko kano Alyek Judith agamba nti eby’akazuuka biraga nga ababaka n’abakulemebeze abalala bangi bwebatamanyi kyakugamba bantu ku nsonga za mukenenya, kale nga kibadde ky’etagisa okubawabula.
Kati ono agamba nti obubaka buno bamaze okubuwandiika, era nga kati buli mubaka wa parliament wadembe okubweyambisa okumanyisa abantube ebikwata ku kawuka ka mukenenya.