Ebyobulamu
Kolera yagobye mu Kampala
Bya Sam Ssebuliba ne Shamim Nateebwa
Ministry yebyobulamu etegezezza nga bwetandise okunonyereza ku kirwadde kya Cholera, ekyagobye mu Kampala.
Okusinziira ku mwogezi wa ministry yebyobulamu Emmanuel Ainebyona, abalwadde 8 kigambibwa nti bebalina ekirwadde mu kibuga.
Kati akakasizza nti 2 ku bbo babakebedde nebakaksibwa nti bwalwadde, ngabalal babakjeeko sampo zikyekebejjebwa mu kebejjezo e Butabika.
Ababiri batuuze be Kabowa mu divison ye Rubaga Division.
Wabula bbo abatuuze be Kabowa, okubalukawo kwekirwadde kya cholera mu kitundu kyabwe, bakitadde ku kitongole kya KCCA ekibasibyeko obuligo.
Bano bagamba nti KCCA emaze kati omwaka kyenkana mulamba nga tegogola mwala gwe Nalukolongo.
Yye mayor we Rubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo asabye abatuuze okubeera abakakamu, ate bakuumeobuyonjo era nasubiza nti bagenda kwongeramu amanyi mu kuyoola kasasiro.