Ebyobusuubuzi

Ministule y’ensonga z’omunda mu gwanga erabaudde ku bafere

Ministule y’ensonga z’omunda mu gwanga erabaudde ku bafere

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ministry yensonga zomunda mu gwanga erabudde bana-Uganda bewale abafera boku yin tantaneti, nga bakola ku mpapula zokusa visa.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku Media Centre mu Kmapala, akulira ebyentambula yabantu abayingira nokufuluma egwanga Mercellino Bwesigye agambye nti gavumenti ssi yenaaba, evunayzibwa ku nsimbi zebababbako.

Ono agambye nti omukutu omutongol guli www.visas immigration.go.ug.

Bwesigye agambye nti okuyita kuno abantu basobola okufuna visa, Work permits, certificate ezobutuuze nebiwandiiko ebirala ebir mu mateeka, ku bisale ebituufu.

Ono era agambye nti visa zabakungu oba Diplomatic Visas zigabibwa ku bwerere, atenga endala okuli nezabalambuzi zigula $ 50.

Kati abalambuzi bava mu mawanga ga East Africa, era abayingira mu bungi wakati wa 6 ne12 zigula $ 100.

Wano walabulidde abantu okubeera abagendereza, bewale abafere.