Amawulire

Abayekeera e Congo bawanise- Pulezidenti Museveni awera

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Congolese refugees

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni  ategeezezza ng’amawanga ga Africa bwegalina obusobozi bwonna obwetagisa okumalawo okulwanagana mu ggwanga lya Congo.

Ono agamba nti emikago omuli ogwa  SADC, African Union ne n’ogutaba amawanga agali mu bitundu ebyetoloddwa Nalubaale girina obusobozi okukola ku kizibu kino , era nga akadde konna bagenda kutuula bateese ku nsonga eno.

Ono akwogera bino asinzidde mu lusirika olwetabiddwamu abakulembze ba Africa  wansi w’omukago ogwa SADC  nga luno lukubiriziddwaomukulembeze wa Malawi   Joyce Banda.

Mu ngeri yeemu ng’okulwanagana mu ggwanga lya Congo kukyagenda maaso, abanoonyi b’obubudamo bakyeyiwa wano mu ggwanga mu kitundu kye  Bunagana ,nga eno weewali okulwanagana wakati wabayeekera kko namagye ga congo

Omwogezi w’ekitongole ekiddukirize ekya Uganda Red Cross, Catherine Ntabadde agamba nti bakyetegereza embeera nga bw’eri n’oluvanyuma balabe eky’okuzzaako.

Bino bigenze okubaawo nga gavumenti ya Congo yakalangirira nga bw’ewangudde abayekeera nga nabo bakkirizza nti bawanise