Ebyemizannyo
Abaliko obulemu balina okukulakulanya ebitone
Bya Shamim Nateebwa
Abantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe basomozeddwa, bave mu kukabanga wabula baveeyo okukulakulanya ebitone byabwe.
Okulabula kuno kukoleddwa omumyuka wa mayor wa Kampala Central, Sam Gombya mu kutongoza empaka zemisinde, egyabaliko obulemu egya e Nakawa.
Emiside gino gyategekeddwa nekigenderewa okumanyisa abantu ku baliko obulemu, nokulaga obuobozi bwabwe.
Gombya agambye nti abaliko obulemu naddala abavubuka, balina okuteeka amaaanyi mu busobozi bwabwe, ssi ebyo byebatasobola.
Emisinde gyebatuumye Youth disability
Marathon 2019 givugidde ku mubaka, okulwanyisa okuolebwa nga gyakubeera mu kisaawe e Namboole ku Lwomukaaga luno.