Ebyobulamu
Obutimba bujja
Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga abantu b’omu masekkati g’eggwanga bwebali ab’okufuna obutimba bw’ensiri ku bwerere nga omwezi guno tegunaggwako.
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba disitulikiti ez’okuganyulwa mu kino kuliko Luwero Masaka, Mpigi and Rakai nendala nga ate disitulikiti okuli kampala ne wakiso zakuweebwa obutimba buno nga December tannaggwawko.
Bbo ab’omu buvanjuba bagabanye dda ku butimba obusoba mu bukadde 27 okulwanyisa omusujja gwensiri.