Amawulire

Ekibiina kya Muntu kitongozeddwa

Ekibiina kya Muntu kitongozeddwa

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Omubaka wabavubuka mu gwanga Tanzania Upendo Peneza Furaha awabudde, abavuganya gavumenti kuno, ddala amaanyi bagaeteeke mu kuzimba emirandira, eginabatuuse mu buyinza.

Bwabadde ayogerera mu kutongoza ekibiina kya Allianace for National Transformation, ngomugenyi owenjawulo Furaha agambye nti tewali people power, oba amaanyi gabantu awatali, kubatekateeka okuviira ddala wansi.

Alabudde nti wewaawo enkyukakyuka mu gwanga yetagisa, naye embeera gyetagibwa, egwanga obutatabanguka.

Ono ava mu kibiina kyebyobufuzi ekya CHADEMA ekivuganya gavumenti.

Kati ekibiina kino bakitongozza, nebalangirira abakulembeze abakiseera, obubonero ne langi zekibiina.

Langi zaabwe kuliko kakobe, emyufu, enjeru kacungwa.

Abamu ku bakulembeze aalondeddwa kuliko, Dan Mugalula, aganeda kukulembera byakulonda, Christine Abiya muwanika, omwogezi ye Wilberforce Seryazi nga wakumyukibwa Sul;aiman Kakaire, ate olukiiko lwabakadde lwakutulako Yokasi Bihanda, Wandera Ogalo ne Dr Munini Mulera.

Mu biralala omukunzi wekibiina Alice Alaso alangirieidde nti bagenda kutandika okutalaaga egwanga, ngabetegekera okulonda kwa bonna okwa 2021.

Kati ebikongeku ludda oluvuganya gavumenti okuli omubaka Robert Kyagulanyi, ssenkaggale wa DP Nobert Mao, eyali okulira oludda oluvuganya gavumentu Winnie Kiiza, n’abalala bebatalutumidde mwana ku mukolo guno.