Amawulire

Ogwa Bakaleke baguyimirizza

Ogwa Bakaleke baguyimirizza

Ivan Ssenabulya

May 27th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita ayimirizza okuwlira omusngo gweyali omuddumizi wa poliisi mu Kampala South Siraje Bakeleke, okutuusa ngamaze okukwatibwa.

Ebbaluwa eyimiriza emisango ku Bakaleke ne banne 8 bwebavunanibwa, yatereddwako omukono gwa ssabawaabi wa gavumenti nga May 24th 2019, nga bajanjulidde omulamuzi we ddaala erisooka mu kooti ewozesa abalyake Moses Nabende.

Omulamuzi Nabende kinajjukirwa nti yayisa ekibaluwa ekikwata Bakeleke, aletebwe okuvunanibwa emisango gyokufera $ emitwalo 41 nekitundu ku banansi ba Korea 3.

Bakaleke avunanibwa nabasirikale mu poliisi okuli Innocent Munezero, Nuwagaba Innocent, Robert Asiimwe, Amanya Junior,  Babu Gastavas Kenneth Zirintuusa ne bannamateeka Paul Mugoya ne Samuel Nabeta.