Amawulire
Poliisi efulumiza amateeka g’okuluguddo eri abalamazi
Bya Prossy Kisakye, Poliisi y’ebidduka efulumizza amateeka g’okunguddo agagenda okugobererwa wakati mu bikujjuko by’okulamaga emikolo egikwatibwa buli nga 3 omwezi ogw’omukaaga.
Mu lukugaana lw’abannamawulire olutudde kukiggwa kya bajjulizi e Namugongo akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala ne miriraano Norman Musinga ategeezezza nga bwewatagenda kubeerawo bifo wakusimba motoka ku biggwa byombi ekya bakatoliki ne kyabakristaayo.
Wabula musinga ategeezezza nti abalina sitiika z’abakungu beebo okukkirizibwa okusimba mu bifo ebyategekedwa.
Abakungu abagenda ku kiggwa kye Nakiyanja bakuyingira nga bakozessa ekkubo lya Bweyogerere Buto,
Abalamazi okuva ebweru w’eggwanga kukigwa kya bakatuliiki nga balina sitiika eza ky’envu bakusimba emotooka zaabwe ku ssomero lya Vienna college.
Nga abakozessa ebigere bakukozessa olugundo lwe kyaliwajala okutuuka ku biggwa byombi.
Songa emotoka z’obuyonjo ne taxi si zakukkirizibwa mu bifo byonna okuliraana n’ekiggwa ky’abajulizi.
Abavuga ebimotoka by’amafuta ebinene nabo poliisi ebasabye okuva nga bbiri june obutabivugira mu makubo okuli Kireka, Byaliwajala, Bweyogerere ne bifo ebiriranyewo okwewala okutataganya abalamazi.
Oluguuddo lwa kireka –kyaliwajala lwakuyingiza buyingiza nga tezifulumirawo.
Mungeri y’emu poliisi etadewo ebifo ebikeberebwamu e Nalya, Kireka, Kira town council, Bweyogerere, Agenda 2000 ne nenguddo ezidda e Namugongo era n’esaba abalamazi okugondera amateeka agateredwawo.