Amawulire

Abalamazi bogedde bye basuubira okufuna

Abalamazi bogedde bye basuubira okufuna

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Olunaku esigadde lumu lwokka okutuuka ku lunaku mulindwa olw’okujjukira  abajjulizi ba Uganda abafiiririra eddiini mu myaka gya 1800 ku biragiro bya ssekabaka mwanga 11.

Omusasi waffe atuseeko ku kiggwa kya bajulizi e Namugongo nayogerako n’abalamzi abatuuse era batubulidde bye basubira okufuna mu kulamaga kw’omulundi guno.

Abamu bazze ku basabira mirembe famile zaabwe, abalala mirimu, abalala bagala mukama katonda kubawa zadde.

N’abaana abato nabo okulamaga tekubalese mabega nga nabo bazze okusaba katonda okubawa amagezi n’okusobozesa bazadde baabwe okufuna ekigulira magala eddiba basobole okusigala nga babawerera.