Amawulire

Omulabirizi Kityo Luwalira ajjaguza emyaka 10 ng’awereza

Omulabirizi Kityo Luwalira ajjaguza emyaka 10 ng’awereza

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakristu bikumi na bikumi okuv e Namirembe beeyiye ku kigo kye masuliita ku St. Andrew’s Church of Uganda e Kazo okujaguza nga bwegiweze emyaka 10 beddu bukyanga omulabirizi Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira awereza ng’omulabirizi w’e Namirembe.

Omubulizi w’olunaku Dr. Peter Asiimwe wano wasinzidde nakubiriza abakristu okusaba katonda okubawa emitima emiwombeefu.

Dr. Asiimwe era asabye abakkiriza okwebazanga katonda mu buli nsonga yonna era n’abakutira okutambuliranga mu bulamu obw’okusaba nga Dawudi mu baibuli songa n’omulabirizi luwalira bwatambuliddemu ebbanga lyonna elyobuwereza bwe.

Ate ye omulabirizi Kityo Luwalira mu kwogerakwe akutidde abakulembeze bulijjo okuwerezanga mu bwensimbu olw’okwebajja okufuna empeera ennungi.