Amawulire

Ssabasajja akuutidde abakulembeze

Ssabasajja akuutidde abakulembeze

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ssabasajja kabaka wa Buganda akubiriza bannauganda naddala abali mu bifo by’obukulembeze okubeera n’obuvunanyizibwa okutukkiriza ekatala eriba ribaweereddwa nga bakola ebyo ebiba bibasuubirwamu.

Bino bibadde mu bubaka bwa Ssabasajja eri abakungubazi abetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi prof.  Apollo Nsibambi ku lutiko e Namirembe.

Ssabasajja ategeezeza nti Obuganda bwakusubwa nnyo Prof.  Nsibambi olw’okukola enyo mu kuzaawo obw’akabaka bwa buganda, yakulemberamu akakiiko akateesa ne gavumenti eya wakati mu kuzza ebyaffe songa ate yali musaale mu kulwanirira enfuga eyafedero era wafiiridde nga waliwo webatuuse.

Mungeri yemu kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 ayogedde ku mugenzi Nsibambi ng’omuntu abadde n’empisa engunjufu era omuntu atabadde na lutalo na muntu yenna n’asaba bannauganda okumuyigirako.