Amawulire
Omukazi asse bba e Kasanda
Bya Magembe Sabiiti, Poliisi mu district ye Kassanda ekute omukazi Clementina Mukandayambeje ow’emyaka 24 lwa kukira bbaawe Shaka-Ngobaziza n’amufumita ekiso bulago n’amutta nga amutebereza okuganza omukazi omulala.
Ettemu lino libadde ku kyalo Kalagi mu ggombolola y’e Kitumbi e Kassanda ng’okusinzira ku poliisi abafumbo bano baludde nga balina obutakanya mu maka nga omukazi atebereza bba okwagala abakazi abalala.
Omwogezi wa poliisi Mu wamala Region Ochom Nobert akakasizza ettemu lino nategeeza nga Clementina bwakumirwa ku poliisi e Kassanda wanajibwa atwalibwe mu kooti avunanibwe omusango gw’okutta omuntu.