Amawulire

Amaka 400 gegakoseddwa e Bududa

Amaka 400 gegakoseddwa e Bududa

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omugatte abantu 80 bebakoseddwa okubumbulukuka kwe ttaka mu district ye Bududa okuva mu maka 400, songa abantu 6 bebafudde.

Kino kikaksiddwa abadukirize aba Uganda Redcross Society, oluvanyuma lwokwekenneenya embeera.

Kino kyavudde ku namutikwa wenkuba eyatonnye, okuva mu kiro eky’oLwokubiri, ekyaviirddeko nomugga Tsume okubooga.

Enjega eno yabadde mu gombolola 5 eza district eno, nga kati wetwogerera babundabunda, enkuba bweyatutte ebyabwe byonna, n’ebimu nebibutikitirwa ettaka.

Omwogezi wa Redcross Irene Nakasiita atubuliidde nti abantu, kati bababudamizza ku ssomero lya Bukhaali P/S.

Agambye nti bano betaaga emmere, awokusula, amazzi amayonjo kabuyonjo saako nebikozesebwa mu bulamu.

Eno era agambye nti waliwo okutya nti abantu bandikwatibwa ebirwadde ebiva ku buligo, kubanga awokweyambira tebalina.