Amawulire
Bannauganda bakubirizidwa obutakozesa baana
Bya Benjamin Jumbe, Atwala ensonga z’eby’emirimu n’obukuumi bw’abakozi mu minisitule y’ekikula ky’abantu Martin Wandera asabye bannauganda okuba abengedereza kunsonga z’okukozesa abaana abato
Wandera mwenyamivu olw’omuwendo gw’abaana abakozesebwa nga bato okweyongera kyagamba nti kikontana n’amateeka agakwata ku ddembe lya baana
Ono okwogera bino nga Uganda yetegekera kwegata kunsi yonna okukuza olunaku lw’okukola kw’abaana olubeerawo buli mwaka nga 12th omwezi ogwassebo aseka.
Emikolo emikulu gyakubeera mu district ye busia wansi w’omulamwa ogugamba nti abaana tebatekedwa kukola wabula okutunulira ebirooto byabwe.