Amawulire
Omusirikale yasobya ku gwebasobyako
Bya Ruth Anderah
Omusirikale ku poliisi yoku Mawanda road avunaaniddwa, n’oluvanyuma nebamusindika ku alimanda mu kkomera e Luzira olwokusobya ku mwana, gwebaali balese ku poliisi eno nga kigambibwa era kumusobyako.
Samuel Okot owemyaka 29 asimbiddwa mu maaso gomulamuzi we ddala erisooka, ku City Hall Valerian Tuhimbise, nga tamuganyizza kubaako kyanyega ku musango ogumusomeddwa, kubanga guwulirwa kooti enkulu yokka era yeyinza okumuwa okweyimirirwa.
Kati bamusindise ku alimanda okutukira ddala nga 20th June, kisobozese poliisi okumaliriza okunonyereza kwayo.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa nga 25th May 2019 ku poliisi yoku Mawanda road, mu Kampala yasobya ku kaana akemyaka 16, ate akaali azze ku poliisi ngera kemulugunya ku bigambibwa nti baali bakasobezaako.